Nehemiah 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne nkunkumula ekikondoolo kyange nga bwe ŋŋamba nti: “Katonda akunkumule ennyumba na buli kikye okuva ku buli muntu ataatuukirize kigambo kino; akunkumulibwe bw'atyo asigale mulangasa.” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti: “Amiina!” Ne batendereza Katonda. Abantu ne bakola nga bwe baali basuubizizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “ Mukama Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!” Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti, “Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu.” Ekibiina kyonna ne boogera nti, “Amiina,” ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola nga bwe basuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nkunkumula ekiwuzi kye nneesiba mu kiwato, ne ŋŋamba nti: “Bw'ati Katonda bw'alikunkumula omuntu atakuuma ky'asuubizza, n'amuggya mu nnyumba ye, ne ku mulimu gwe. Omuntu oyo bw'atyo bw'aba akunkumulwa mu ebyo, aggyirwemu ddala.” Ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama. Abantu ne batuukiriza kye baasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu. Ekibiina kyonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola ng'okusuubiza kuno bwe kwali.