Nehemiah 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'okuva ku lunaku kabaka lwe yannonda mbeere owessaza mu Yuda __ okuva mu mwaka ogw'amakumi abiri okutuusa mu gw'amakumi asatu mu ebiri ogwa kabaka Arutakesasuta, gye myaka kkumi n'ebiri __ nze ne baganda bange tetwalya ku mmere eyandibadde omugabo gw'owessaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza w’ensi ya Yuda, mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri, gy’emyaka ekkumi n’ebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba ey’owessaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'abiri (20) okutuuka ku mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri (12), nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu myaka gyonna ekkumi n'ebiri gye namala nga nfuga Buyudaaya, okuva mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Arutazeruzeesi ye kabaka, okutuuka mu mwaka gwe ogw'amakumi asatu mu ebiri, nze wadde baganda bange, tewali yalya ku mmere eyaalibadde eweebwa omufuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'amakumi abiri okutuuka ku mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri, nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu.