Nehemiah 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo abaamasaza abankulembera bassa ekikoligo ekizito ku bantu, anti buli lunaku baggyanga ku bantu sekeli amakumi ana eza ffeeza nga kw'otadde evviini n'emmere; n'abaami baabwe baanyigirizanga abantu. Nze saakola ntyo olw'okutya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olw’okutya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga ku bantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge ne bongerako ne sekeri eza ffeeza ana (40) era n'abaddu baabwe baatulugunyanga abantu, naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafuzi abansooka, baatulugunyanga abantu nga babaggyako emmere n'omwenge gw'emizabbibu n'ensimbi amakumi ana eza ffeeza. Era n'abaweereza baabwe, nabo baatulugunyanga abantu. Naye nze si bwe nakolanga, kubanga nali nzisaamu Katonda ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga abantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge obutassaako sekeri eza ffeeza amakumi ana; weewaawo, n'abaddu baabwe baafuganga abantu: naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda.