Nehemiah 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze neefunyirira ku kuddaabiriza bbugwe. Basajja bange baakuŋŋaaniranga ku mulimu, ffe tetwagula nnimiro n'emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze n’abasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogw'okuzimba bbugwe ono, ne tuteegulira ttaka, n'abaddu bange bonna ne baakuŋŋaanira eyo eri omulimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nanyiikiriranga kukola mulimu gwa kuzimba kisenge kino, ne tuteegulira ttaka. N'abaweereza bange bonna ne beemalira mu kukola mulimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogwa bbugwe ono, so tetwagula nsi yonna: n'abaddu bange bonna ne bakuŋŋaanira eyo eri omulimu.