Nehemiah 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Abayudaaya, abakungu n'abasajja kikumi mu ataano baalyanga ku mmeeza yange, ssaako n'abaavanga mu b'amawanga agatwetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo n’abakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kw’otadde n’abaava mu mawanga agaatuliraananga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bulijjo ku mmeeza yange nnaliisanga Abayudaaya n'abakulu babwe, abasajja kikumi mu ataano (150), obutassaako abo abajja gyetuli nga bava mu bannamawanga abatwetoolodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mmeeza yange naliisanga abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya, n'abakulembeze, wamu n'abantu abalala abajja gye tuli nga bava mu mawanga agatwetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku Bayudaaya n'abakulu, abasajja kikumi mu ataano baabanga ku mmeeza yange obutassaako abo abajja gye tuli nga bava mu bannaggwanga abatwetoolodde.