Nehemiah 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lunaku banzitiranga ente nnamba, endiga mukaaga n'enkoko nga ziizo. Buli nnaku kkumi baaleetanga evviini nnyingi eya buli kika. Newandibadde gwali bwe gutyo, saasabanga mmere eyandibadde omugabo gwange ng'owessaza, kubanga ebibinikiddwa byandizitoweredde abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lunaku ente emu, n’endiga ensava mukaaga n’enkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu byali: ente emu (1) n'endiga ensava mukaaga (6) era n'enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi (10) omwenge ogw'engeri zonna, era naye newakubadde nga byali bwe bityo ssaabasalira mmere gye banditekeddwa okuwa omukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku banteekerateekeranga ente emu, n'endiga mukaaga ensava, n'enkoko era buli nnaku kkumi, omwenge mungi ogwa buli ngeri. Wadde ng'ebyo byali bwe bityo, kyokka namanya ebizibu ebinene abantu bye baalina, ne sibasaliranga mmere gye banditeekeddwa okuwa omufuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu ente emu n'endiga ennonde mukaaga; era enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi omwenge ogw'engeri zonna: era naye newakubadde nga byali bwe bityo saabasalira mmere ya mukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano.