Nehemiah 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo abaagambanga nti: “Ffe wamu ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi; okubaako ke tulya tubeere balamu, tulina okufuna eŋŋano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano ey’okulya okutubeezaawo nga tuli balamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waaliwo abaayogera nti, “Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi; tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ne bagamba nti: “Ffe ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi. Tufune eŋŋaano, tulyenga tube balamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waaliwo abaayogera nti Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi: tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu.