Nehemiah 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalala baagambanga nti: “Ennimiro zaffe, emizabbibu n'ennyumba zaffe twabisingayo tufune eŋŋano mu biseera eby'enjala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne wabaawo abalala abaayogera nti, “Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe olw'enjala, tufunenga eŋŋaano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala ne bagamba nti: “Olw'enjala, tusingayo ebibanja byaffe n'ennimiro zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe okufuna eŋŋaano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne wabaawo abaayogera nti Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe: tufunenga eŋŋaano olw'enjala.