Nehemiah 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abandi bo nga bagamba nti: “Twewola ssente tusobole okusasula empooza ya kabaka ku nnimiro zaffe n'emizabbibu gyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne wabaawo abaayogera nti, “Twewola effeeza ey'omusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalala ne bagamba nti: “Twewola ensimbi okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez'emizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne wabaawo abaayogera nti Twewola effeeza ey'emusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku ez'emizabbibu.