Nehemiah 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nazeefumiitirizaako mu mutima gwange, ne nvunaana abakungu n'abalamuzi. Nabagamba nti: “Mwenna buli omu mwaliika baganda bammwe ekiyitiridde.” Ne nkuŋŋaanya olukiiko lunene okubavunaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti, “Muweesa buli muntu muganda we amagoba.” Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nneebuuza mu mutima gwange eky'okukola. Ne nnyombesa abakulembeze n'abakungu b'abantu, ne mbagamba nti: “Muliika baganda bammwe amagoba!” Awo ne nkuba olukuŋŋaana lunene okubavunaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti Muweesa amagoba, buli muntu muganda we. Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene.