Nehemiah 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Tukoze kyonna kye tusobola, tununudde baganda baffe Abayudaaya abaali batundiddwa mu mawanga; ate kati mmwe mutunda baganda bammwe ate bo babatuguze?” Ne basirika, kubanga tebaalina kya kwogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbagamba nti, “Ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule!” Awo ne basirika busirisi ne batabaako kye boogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbagamba nti: “Tukoze kye tusobola okununula Bayudaaya bannaffe abaatundibwa mu b'amawanga amalala. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule?” Abakulembeze ne basirika busirisi, ne batabaako kye boogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbagamba nti ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannaggwanga; nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, naffe twandiba guze? Awo ne basirika ne batalaba kigambo.