Nehemiah 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbagamba nti: “Kye mwakola si kirungi. Tekyandisinze ne mutambulira mu kutya Katonda waffe, abalabe baffe ab'amawanga baleme kutunyooma?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso g’abalabe baffe, bannamawanga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne njogera nti, “Ekigambo kye mukola si kirungi. Temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa bannamawanga abalabe baffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Kye mukola si kirungi. Musaanidde okutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa balabe baffe ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne njogera nti Ekigambo kye mukola si kirungi: temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, olw'okuvuma kwa bannaggwanga abalabe baffe?