Nehemiah 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sanuballati, Tobiya, Gesemu Omuwarabu n'abalabe baffe abalala bwe baawulira nga bbugwe mmuzimbye, nga tewakyali mabanga gatabunidde, newandibadde nga n'okutuusa mu kadde ako nali sinnassaamu nzigi mu miryango,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali bituli bisigaddemu; newakubadde nga mu biro ebyo nali nga sinnassa nzigi mu miryango
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sanuballati ne Tobiya ne Gesemu Omuwarabu n'abalabe baffe abalala bonna, ne bamanya nga mmalirizza okuzimba ekisenge, era nga temuli bituli bisigaddemu, newaakubadde nga nali sinnassa nzigi mu miryango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali kituli ekisigadde omwo; (newakubadde nga nali nga sinnasimba nzigi mu miryango mu biro ebyo;)