Nehemiah 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu bwe nayingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Delaaya mutabani wa Meetabeli, eyali assiddwako ekkomo, n'agamba nti: “Tusisinkane mu Kiggwa kya Katonda, munda mu Kitukuvu, tusibe emiryango gy'Ekiggwa, kubanga bajja bakutte; ekiro bajja kujja bakutte.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya muzzukulu wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti, “Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda mu Yeekaalu, era tuggalewo enzigi za Yeekaalu; kubanga bagenda kujja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋenda ewa Semaaya mutabani wa Delaaya era muzzukulu wa Meketabeli eyali tasobola kuva mu nnyumba ye. N'aŋŋamba nti: “Tugende twekweke mu kifo Ekitukuvu eky'omu Ssinzizo, twesibiremu kubanga bagenda kujja kukutta. Ddala ekiro banajja okukutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyingira mu nnyunba ya Semaaya mutabani wa Deraaya mutabani wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda wa yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu: kubanga banajja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.