Nehemiah 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Omusajja ali nga nze naye adduka? Omusajja ali nga nze yandiyingidde Ekiggwa okwewonya? Sijja kuyingira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njogera nti, “Omusajja eyenkana awo nga nze yandidduse? Era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu Yeekaalu okuwonya obulamu bwe? Sijja kuyingiramu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mmuddamu nti: “Omusajja nga nze nnyinza ntya okudduka ne nneekweka? Era nnyinza ntya okuyingira mu Ssinzizo okuwonyezaamu obulamu bwange? Sijja kukikola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Omusajja eyenkana awo nga nze nandidduse? era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu yeekaalu okuwonya obulamu bwe? siiyingiremu.