Nehemiah 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ntegeera nti Katonda si ye yali amutumye, wabula yali alanga bubi ku nze, kubanga Tobiya ne Sanuballati baali bamuguliridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntegeera, era, laba, nga Katonda teyamutuma, naye ye yandagulako obunnabbi buno, era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mmanya era ne ntegeera nga Katonda si ye yatuma Semaaya okwogera ebyo, wabula nga yeeyogeza eby'obulanzi ebyo, kubanga Tobiya ne Sanuballati be baali bamuguliridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntegeera, era, laba, Katonda teyamutuma: naye yandagulako obunnabbi buno: era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.