Nehemiah 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali aguliriddwa antiisetiise, nkole ekyo, bwe ntyo ngwe mu kibi, bansiige ekko, bayime okwo okunvunaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baamugulirira antiisetiise nkole bwe ntyo ngwe mu kibi, balyoke banjogereko obubi, banswazeswaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume.