Nehemiah 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanuballati olw'ebikolwa byabwe bino, n'omulanzi omukazi Nowadiya, n'abalanzi abalala abantiisatiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda wange ojjukire Tobiya ne Sanubalaati olw’ebikolwa ebyo, era ojjukire ne Nowadiya nnabbi omukazi ne bannabbi abalala abaagezaako okuntiisatiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanuballati kye bakoze. Era jjukira n'omulanzi omukazi Nowadiya n'abalanzi abalala abagezezzaako okuntiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza.