Nehemiah 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe yamalirizibwa ku lunaku olwabiri mu ettano olw'omwezi Eluli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, era omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku ataano mu bbiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne tumaliriza okuzimba ekisenge ku lunaku olw'amakumi abiri mw'ettaano mu mwezi ogwa Eluuli. Omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu biri.