Nehemiah 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe baffe bonna bwe baawulira, n'amawanga gonna agatwetoolodde bwe gaalaba, ne batoowazibwa, kubanga baamanya nti omulimu guno Katonda y'agukoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe baffe bonna bwe baakiwulira, amawanga gonna agaali gatwetoolodde ne bamulaba, ne batya era ne baggwaamu omwoyo, kubanga baalaba ng’omulimu gwakolebwa olw’okubeerwa kwa Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannamawanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo, kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe baffe bonna bwe baawulira, n'ab'amawanga gonna agatwetoolodde bwe baalaba ebyo, ne baggweeramu ddala amaanyi, kubanga baamanya ng'omulimu ogwo gwakolebwa, nga Katonda waffe ye atubedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannaggwanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo: kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.