Nehemiah 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mu budde obwo abakungu Abayudaaya baaweerezanga ebbaluwa nkumu eri Tobiya, n'eziva ewa Tobiya nga tezita kubatuukako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, era ne Tobiya ng'abaddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo abakungu b'omu Buyudaaya baaweerezanga Tobiya ebbaluwa nnyingi era ne Tobiya ng'abaddamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, ebbaluwa za Tobiya ne zijja gye bali.