Nehemiah 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bangi mu Yuda baali beekobye naye, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ara, ne mutabani wa Yokanani eyali awasizza Mesullamu muwala wa Berekiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; era ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Buyudaaya mwalimu abantu bangi abaali ku ludda lwe, kubanga Sekaniya mutabani wa Ara ye yali kitaawe wa mukazi we. Ate ne mutabani we Yehohanani yali awasizza muwala wa Mesullamu, mutabani wa Berekiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abamulayirira kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.