Nehemiah 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sanuballati ne Gesemu ne bansindikira obubaka buno nti: “Jjangu, tusisinkane mu kyalo ekimu mu museetwe gwa Ono.” Baali bansalira lukwe kunkolako bulabe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, “Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono.” Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti, “Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga baalowooza okunkola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sanuballati ne Gesemu ne bantumira nga bagamba nti: “Jjangu tusisinkane mu kimu ku byalo by'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga kye bagenderera kwe kunkolako akabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono. Naye nga baalowooza okunkola obubi.