Nehemiah 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange ne mbatumira ababaka nga ŋŋamba nti: “Ndi ku mulimu munene, sisobola kuserengeta eyo. Lwaki omulimu guyimirira nga nze nserengese eyo gye muli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, “Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbatumira ababaka nga njogera nti, “Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kujja gye muli, omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nzijja eyo gye muli?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbatumira ababaka nga ŋŋamba nti: “Sisobola kujja, kubanga omulimu gwe ndiko munene. Kaakano ndekewo omulimu, guyimirire, ndyoke nzije eyo gye muli?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbatumira ababaka nga njogera nti Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kuserengeta: omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nserengeta gye muli?