Nehemiah 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era otaddewo n'abalanzi balangirire mu Yeruzaalemu ku ggwe nti: ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Eŋŋambo zino zijja kutuuka kabaka; kale nno jjangu, tusalire wamu amagezi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kigambibwa nga walonda bannabbi mu Yerusaalemi okukulangiririra nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Noolwekyo obubaka obwo nga tebunatwalibwa eri kabaka, jjangu tukkiriziganye ku nsonga eyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era otaddewo ne bannabbi abanaabuulira abantu ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Kale nno kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo, kale nno jjangu tuteese ffembi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era otaddewo n'abalanzi abanaabuulira abantu ebigambo byo mu Yerusaalemu nti: ‘Mu Buyudaaya mulimu kabaka.’ Kale kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo. N'olwekyo jjangu, tubyogereko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era otaddewo ne bannabbi ab'okubuulira ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti Mu Yuda mulimu kabaka: kale nno kabaka alibuulirwa ng'ebigambo ebyo bwe biri. Kale nno jjangu tuteese fembi.