Nehemiah 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mmutumira nga mmuddamu ku ebyo nti: “Si bwe kiri nga ggwe bw'oyogera; ebyo obifumbiridde mu mutima gwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mmutumira nga njogera nti, “Tewakolebwanga bigambo nga bw'oyogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mmutumira nti: “Byonna by'ogamba tebibeerangawo, ggwe obyeyiiyirizza ku bubwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mmutumira nga njogera nti Tewakolebwanga bigambo nga bw'otogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.