Nehemiah 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bonna baali batutiisatiisa nga balowooza nti: “Emikono gyabwe gijja kulagaya mu kukola omulimu, tegujja kumalirizibwa.” Mukama, nnyongeraamu amaanyi mu mikono gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga bagamba nti, “Emikono gyabwe girifuuka minafu bave ku mulimu guleme okukolebwa.” Naye kaakano, ayi Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga balowooza nti tujja kuva ku mulimu guleme kukolebwa. Kyokka kaakano, ayi Katonda onnyongere amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bonna banditutiisizza nga boogera nti Emikono gyabwe girifuuka minafu okuva ku mulimu guleme okukolebwa. Naye kaakano, ai Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.