Nehemiah 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe bwe yamala okuzimbibwa, ne mpangamu enzigi, ne nnonda abaggazi, abayimbi n'Abaleevi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, era ng'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi balondeddwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka ekisenge bwe kyaggwa okuzimba, era nga mmaze okuteekamu enzigi, era ng'abaggazi, n'abayimbi, era n'Abaleevi balondeddwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, n'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi nga balondeddwa,