Nehemiah 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kanani muganda wange gwe nassaamu alabirire Yeruzaalemu wamu ne Ananiya omugabe alabirira ekigo, kubanga yali musajja mwesimbu, ng'atya Katonda okusinga abantu abalala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi, kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nteekawo muganda wange Hanani, ne Hananiya omufuzi w'ekigo eky'okwerinda okulabiriranga Yerusaalemu. Hananiya oyo yali mwesigwa, era nga mu kutya Katonda tewali amwenkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi: kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.