Nehemiah 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabagamba nti: “Emiryango gya Yeruzaalemu tegiggulwanga okutuusa ng'akasana kamaze okukaalaama, ate giggalwe n'okusibibwa ng'enjuba etandika okugwa. Mulonde mu batuuze b'omu Yeruzaalemu abakuumi, abamu mubasse we banaakuuma, abalala bakuumire mu maaso g'ennyumba zaabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbagamba nti, “Enzigi za Yerusaalemi teziggulwangawo ng'omusana tegunnakaalaama; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba, era mussengawo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, ng'ayolekera ennyumba ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbagamba nti: “Emiryango gya Yerusaalemu tegiggulwangawo ng'akasana tekannabaaluuka, era bagiggalenga, gisibwe ng'abakuumi bakyakuuma. Era muteekeewo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemu, bakuume mu mpalo zaabwe, era buli mukuumi akuume ekitundu ennyumba ye mw'etunudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyumba ye.