Nehemiah 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kyali kigazi nga kinene, naye nga mulimu abantu batono, n'ennyumba nga sizinnazimbibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaali omwo baali batono, nga n'ennyumba tennazimbibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu kyali kibuga kinene, naye mwalimu abantu batono era nga n'ennyumba ezizimbiddwa si nnyingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekibuga kyali kigazi era kinene: naye abantu abaali omwo baali batono, n'ennyumba nga tezizimbiddwa.