Nehemiah 7:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abaggazi: bazzukulu ba Sallumu, Ateri, Talumoni, Akkubu, Katita ne Sobayi, bonna wamu kikumi mu asatu mu munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana (138).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaggazi ab'ezzadde lya Sallumu, n'erya Ateri, n'erya Talumooni, n'erya Akkubu, n'erya Atita, n'erya Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana.