Nehemiah 7:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'ateeka mu mutima gwange eky'okukuŋŋaanya abakungu, abakulembeze n'abantu aba bulijjo, mbabale nga ngoba endyo zaabwe. Nagwikiriza ekitabo ky'endyo zaabo abaasooka okudda. Bano be nasanga bawandiikiddwamu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne nzuula ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'anteekamu ekirowoozo eky'okukuŋŋaanya abakungu, n'abakulembeze b'abantu, n'abantu abalala babalibwe mu maka mwe bazaalibwa. Ne nzuula ekitabo eky'obuzaale bw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne ndaba ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okwambuka, ne ndaba, nga kiwandiikiddwamu nti