Nehemiah 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bano be bantu ab'omu ttwale abaayambuka nga bava mu busibe bw'abawaŋŋangusibwa, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni be yali atutte mu busibe mu Babiloni, ne bakomawo mu Yeruzaalemu ne mu Yuda, buli omu n'adda mu kibuga kye;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be bantu ab'essaza abaakomawo okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bantu abaava mu kitundu ky'e Babilooni abaakomawo e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya buli muntu ng'adda mu kibuga ky'ewaabwe. Abantu bano Kabaka Nebukadunezzari yali abatutte e Babilooni nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwaiibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;