Nehemiah 7:61 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bano be badda nga bava mu bibuga Teli-Melaki, Teli-Karusa, Kerubi, Addoni ne Yimmeri, naye nga tebasobola kutegeeza oba ennyumba ya bajjajjaabwe n'olulyo nga bya mu Yisirayeli:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be baava mu bibuga: Terumeera, Terukalusa, Kerubu, Yaddoni, ne Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be baava mu bibuga Telumela, Teluharusa, Kerubu, Addoni ne Yimmeri, kyokka nga tebayinza kulaga nnyumba za bajjajjaabwe mwe basibuka, wadde obuzaale bwabwe nti Bayisirayeli:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: