Nehemiah 7:63 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mu ba bakabona: bazzukulu ba Kobaaya, bazzukulu ba Akkozi, bazzukulu ba Baruzillayi, eyawasa mu bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi n'ayitibwa erinnya eryo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku bakabona waaliwo bano: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu bakabona, waaliwo ab'ezzadde lya Hobaya, n'erya Hakkozi, n'erya Baruzillayi, eyawasa omu ku bawala ba Baluzillayi Omugileyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe.