Nehemiah 7:64 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano baanoonya obuwandiike bw'olulyo lwabwe ne batabuzuula, ne bagobebwa mu bakabona olw'obutaba balongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale bwabwe, naye ne watalabika, kye baava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale naye ne watalabika, kye baava baboolebwa mu bwakabona nti si balongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babawoola ne babagoba mu bwakabona.