Nehemiah 7:67 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oggyeeko abaddu n'abazaana kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu; ssaako abayimbi abasajja n'abakazi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe bonna baali kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337) era baalina abasajja n'abakazi abayimbi bibiri mu ana mu bataano (245).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga tobaliddeeko baddu baabwe na bazaana baabwe abaali akasanvu mu ebisatu mu asatu mu musanvu. Era baalina abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano abasajja n'abakazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe asanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.