Nehemiah 7:72 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona n'Abaleevi wamu n'abantu abamu, abayimbi, abaggazi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'Abayisirayeli abalala bonna baasenga mu bibuga byabwe. Omwezi ogwomusanvu okutuuka, nga Abayisirayeli bamaze okusenga mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000) ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri (2,000), n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu (67).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalala ne bawaayo ensimbi, kilo kikumi mu nkaaga mu munaana eza zaabu, ne kilo kikumi mu ana ffeeza, n'ebyambalo nkaaga mu musanvu ebya bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki ezaabu obukumi bubiri ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri, n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.