Nehemiah 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu mbuga eri mu maaso g'Omulyango gw'Amazzi, ne bagamba Ezira omuwandiisi aleete ekitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama lye yali ateekedde Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli bonna ng'omuntu omu, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu, mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango gw'Amazzi. Ezera omunnyonnyozi w'amateeka ne bamugamba aleete Ekitabo ky'Amateeka, Mukama ge yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri.