Nehemiah 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mugende, mulye ebyassava munywe otwenge otuwooma, mugabireko ne ku abo abatalina kye beetegekeddewo, kubanga lunaku lutukuvu ku lwa Mukama waffe. Muleke kunakuwala, anti essanyu ly'Omukama ge maanyi gammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abagamba nti, “Mweddireyo, mulye ebyassava, munywe ebiwoomerevu, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe, so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano muddeyo ewammwe, mulye ebyassava, munywe omwenge oguwooma, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe. Kale temunakuwala, kubanga essanyu Mukama ly'abawa, ge maanyi gammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.