Nehemiah 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga bagamba nti: “Mwenna mwesirikire, kubanga luno lunaku lutukuvu, muleke kunakuwala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera nti, “Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi ne bagenda nga bawooyawooya abantu, nga bagamba nti: “Mukkakkane, kubanga olunaku luno lutukuvu, temunakuwala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera, nti Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.