Nehemiah 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bagenda okulya n'okunywa n'okugabako ku mmere, ne basanyuka ebitatendeka, kubanga baali bategedde ebigambo bye baali babategeezezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'okunywa n'okugabira ku bannaabwe emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne baddayo ewaabwe, ne balya ne banywa nga basanyuka, era ne bagabira ne ku bannaabwe, kubanga baali bategedde ebyali bibasomeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'akunywa n'okuwereeza emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.