Nehemiah 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bazuula nga kyawandiikibwa mu Tteeka Omukama lye yateeka ng'ayita mu Musa nti: “Abayisirayeli ba kusulanga mu nsiisira mu mbaga ey'omwezi ogwomusanvu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera eby’embaga ey’omwezi ogw’omusanvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama ge yawa nga ayita mu Musa, nti abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Mateeka, Mukama ge yawa ng'ayita mu Musa, ne basanga nti Abayisirayeli banaasulanga mu nsiisira mu biseera eby'embaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama bwe yalagirira mu Musa, abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu: