Nehemiah 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era nga ba kulangiriranga n'okumanyisa wonna mu bibuga byabwe byonna ne mu Yeruzaalemu nti: ‘Mufulume, mugende mu nsozi muleete amatabi g'oliva ensimbe n'ez'ettale, aga jjambula, ag'enkindu, n'ag'emiti egiggumizza, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi, n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti, “Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaamanyisanga era banaalangiriranga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemu nti: “Mwambuke ku busozi, muleete amatabi g'emizayiti emisimbe n'ag'egy'omu nsiko, n'ag'emiti egy'ebisaka, n'ag'enkindu, n'ag'emiti emiziyivu, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.