Nehemiah 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna eky'abaava mu buwaŋŋanguse baakola ensiisira ne basula omwo. Anti Abayisirayeli ekyo baali tebakikolanga okuva mu budde bwa Yoswa mutabani wa Nuunu okutuusa ku olwo; essanyu lyali lingi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira; kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna abaava mu buwaŋŋanguse ne bazimba ensiisira ne bazisulamu. Abayisirayeli ne basanyuka nnyo, kubanga okuva mu biseera bya Yeswa mutabani wa Nuuni, okutuuka ku lunaku olwo, baali tebakirabangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.