Nehemiah 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira yasomanga mu kitabo ky'Etteeka lya Katonda buli lunaku okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olusembayo. Embaga baamala ennaku musanvu nga bagikuza, ate ku lwomunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olw'ekitiibwa ng'etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lunaku, Ezera n’asomanga mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ng’ekiragiro bwe kiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olwolubereberye okutuuka ku lunaku olw'enkomerero olw'embaga n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku, okuva ku lunaku olusooka olw'embaga, okutuuka ku lusembayo, Ezera n'abasomeranga eby'omu kitabo ky'Amateeka ga Katonda. Embaga n'emala ennaku musanvu, ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olutukuvu, ng'ekiragiro bwe kigamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.