Nehemiah 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akisomamu awo mu luggya olutunudde mu Mulyango gw'Amazzi, okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, mu maaso g'abasajja, abakazi, n'abo abaali basobola okutegeera; abantu bonna ne bawuliriza bulungi ekitabo ky'Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'asoma okuva mu kyo mu maaso g'ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya mu makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asoma ebikirimu, ng'atunudde mu kibangirizi ekiri mu maaso g'Omulyango ogw'Amazzi. Yakibasomera okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bonna bateze amatu okuwulira eby'omu kitabo ekyo eky'Amateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'asoma omwo mu maaso g’ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya ku makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.