Nehemiah 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira omuwandiisi n'ayimirira ku kadaala ak'emiti ke baali bakoledde omukolo. Ku ddyo we waali wayimiriddewo Mattitiya, Sema, Anaaya, Wuriya, Kilukiya ne Maaseeya, ate ku gwa kkono ng'eriyo Pedaaya, Misayeli, Malukiya, Kasumi, Kasubaddana, Zakariya ne Mesullamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezera omuwandiisi n’ayimirira ku kituuti eky’embaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya, Sema, Anaya, Uliya, Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono ne wayimirira Pedaya, Misayeri, Malukiya, Kasumu, Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ezera omunnyonnyozi w'amateeka n'ayimirira ku kituuti eky'embaawo, ekyakolebwa olw'omulimu ogwo. Era okumpi naye ne wayimirirawo Mattitiya, ne Sema, ne Anaya, ne Wuriya, ne Hilukiya, ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo, ne Pedaaya, ne Misayeli, ne Malukiya, ne Hasumu, ne Hasubaddana, ne Zekariya, ne Mesullamu, ku mukono gwe ogwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.