Nehemiah 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezira n'abikkula ekitabo abantu bonna nga bamulaba bulungi, anti yali asooloobye ku bantu bonna; bwe yakibikkula, abantu bonna ne bayimirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; kubanga yali ayimiridde waggulu w'abantu bonna; kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ezera n'ayanjuluza ekitabo ng'abantu bonna bamulaba bulungi, kubanga yali ayimiridde ku kituuti. Bwe yayanjuluza ekitabo, bonna ne bayimirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; (kubanga yali waggulu w'abantu bonna;) kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira: